Search This Blog

Wednesday, March 19, 2025

Dealing with Pain. Lenten Reflection. Day 16

DEALING WITH PAIN

Give it to the Lord. Surrender your feelings to Him in prayer, and picture yourself handing over all these feelings to Him. Releasing our negative emotions to the Lord is the healthiest way to handle them. Peter says, "Cast all your anxiety on him because he cares for you" (1 Peter 5:7 NIV``The Lord is close to the brokenhearted and saves those who are crushed in spirit" (Ps 34:18).
``My flesh and my heart may fail, but God is the strength of my heart and my portion forever" (Ps 73:26).Psalm 18:2 The LORD is my rock and my fortress and my deliverer, my God, my rock, in whom I take refuge, my shield, and the horn of my salvation, my stronghold.
Psalm 34:18 The LORD is near to the brokenhearted and saves the crushed in spirit.
Jeremiah 17:14 Heal me, Lord, and I will be healed; save me and I will be saved, for you are the one I praise. Have a blessed day and may God heal your pain.
Rev. Samuel Muwonge

Okwang'anga obulumi
Waayo eri Mukama emmeeme yo n'ebirowoozo byo bisse gyaali mu kusaba era kubamu ekifaananyi ng'omukwasa engeri gy'owuliramu munda yo. Okusumulula engeri embi gy❜owuliramu mun bulamu bwo bikwase Mukama kuba eno y'engeri esinga bulungi ey❜okuzikwamu. Peetero agamba nti "nga mumusundiikiririzanga ye okweralikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe." (1 Pet. 5:7) "Mukama abeera kumpi n'abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.” (Zab. 34:18).
"Omubiri gwange n'omutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange, era ye wange ennaku zonna." (Zab 73:26). Zabuli 18:2 "Mukama ye Iwazi lwange era ekigo kyange n'omununuzi wange, Katonda wange, olwazi Iwange, mwenzirukira, engabo yange, n'ejjembe ly'obulokozi bwange, ekigo kyange."
Zabuli 34:18 "Mukama ali kumpi n'abo abamenyese era n'awonya ababetenteddwa mu mwoyo."
Yeremiya 17:14 "Mponya, Ayi Mukama, nage nnaawona, ndokola nange nnaalokoka, kubanga ggwe gwe ntendereza."
mbaagaliza olunaku olw’omukisa era Katonda awonye obulumi bwammwe.
Rev. Samuel Muwonge 





No comments:

Post a Comment

Daily Promise: God restores health to you

Jeremiah 30:17 For I will restore health to you, and your wounds I will heal, declares the LORD, because they have called you an...