Search This Blog

Sunday, August 9, 2026

Abakristaayo mweggyeemu enjawukana

Rev Samuel Muwonge, omusumba w'Ekitende akubirizza abakristaayo b'e Jjanyi okweggyamu enjawukana ekkanisa yaabwe bweba enegenda mu maaso. Bino yabyogedde lu Sunday nga 9 August bwe yabadde abuulira mu kkanisa e Jjanyi.
"Yagambye nti Mulekere awo okwerwanyisa. Mulekere awo okwekuba amagi amavundu ekkanisa eno esobole okugenda mu maaso era tugiggulewo mu November nga bwe mwategeeza Omulabirizi."

Yagenze mu maaso n'ategeeza nti Ebibonyaabonya Ekkanisa birabo. "Bwe mutategeera birabo bya bantu mu kkanisa mulemererwa." Bweyakkaatirizza.

Yagambye nti emirundi mingi abakristaayo balonda abantu nga tebasobola kuweereza olw'okuba baba balina enjawukana.

Ye yumirizza mu Mulabirizi w'e Namirembe okumuwa obuvunanyizibwa obuggyayo ekirabo kye eky'okubuulira enjiri. "Neebaza nnyo Omulabirizi eyanteeka mu kirabo kyange eky'okubulira enjiri n'okuzimba." bweyagambye.

Yategeezezza abakristaayo ng'Obusumba bwe bwakozeeyo project y'ennyumba z'abapangisa ng'omwezi eyingiza emitwalo kinaana.  

Obubaka bwe yabwesigamizza ku Bbaluwa ya Pawulo eri Abakolinso .
1Abakolinso 12:1-12 
1 Kale nno, ab'oluganda, eby'ebirabo eby'omwoyo ssaagala mmwe obutabitegeera.
2 Mumanyi bwe mwali ab'amawanga nga  mbategeeza nga siwali muntu bw'ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti Yesu akolimiddwa; so siwali muntu ayinza okwogera nti Yesu ye Mukama waffe, wabula mu Mwoyo Omutukuvu.
4 Naye waliwo enjawulo z'ebirabo, naye Omwoyo ali omu.
5 Era waliwo enjawulo z'okuweereza, era Mukama waffe ali omu.
6 Era waliwo enjawulo z'okukola, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bonna.
7 Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasa.
8 Kubanga omulala Omwoyo amuweesa ekigambo eky'amagezi; n'omulala aweebwa ekigambo eky'okutegeeranga, ku bw'Omwoyo oyo:
9 omulala okukkiriza, ku bw'Omwoyo oyo; n'omulala ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo omu;
10 n’omulala okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo: omulala engeri z'ennimi; n'omulala okuvvuunuzanga ennimi:
11 naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala.
12 Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo.

Ng'alambulula ebgawandiikibwa ebyo, yategeezezza nti Ekkanisa eyo eyogerwako yalimu abantu abaamalala, mwalimu abagagga n'abaavu naye nga beeyawuddemu olw'ebirabo eby'enjawulo . Yalabudde nti "Buli lwemuteesobozesa kutegeera birabo byammwe, muvaamu enjawukana."

Yabasabye okukozesa ebirabo byabwe okusobola okutwala mu maaso omulimu gw'ekkanisa.

Yagambye nti Ebirabo Mukama abituwa kugasa, okuzimba omulimu gwa Kristo. "Omuntu atamanyi atama" bwatyo bwe yennyamidde.

"Abakristaayo mwenna mulina ebirabo eby'enjawulo. Ekireese obuzibu be bantu okwagala ennyo okukoppa. Ekirabo kyo kya njawulo nnyo era kikozese olw'okuzimba obwakabaka bwa Katonda. Bw'okikozesa ojja kulaba ng'omulimu gw'ekkanisa gugenda mu maaso." bwe yagambye.

Yasabye abaweereza omuli ababuulizi, abayimbi, abakubiriza n"abakulu b'ebitongole okusobozesa okulaba Kristo nga bazze okusaba. "Musobozese abantu okulaba Yesu mw'ebyo byonna byemukola" bwatyo bwe yagambye. 

Era yasabye abantu obutasalira bannaabwe musang olw'endabika yaabwe naye batunuulire ebirabo ebiri mu bo. 

"Tuli mu kiseera g'ekkanisa zetemyetemyemu obubondo naye mbasabira nga nange bwe neesabira, Ekkanisa ya Kristo edde ku musingi omugumu, ng'oyo Ye Yesu olwazi olwase" bwe yafundikidde

 




No comments:

Post a Comment

Abakristaayo mweggyeemu enjawukana

Rev Samuel Muwonge, omusumba w'Ekitende akubirizza abakristaayo b'e Jjanyi okweggyamu enjawukana ekkanisa yaabwe bweba ...