Okuzaalibwa obuggya mu kisa. Yok.3:1-18
Omuntu azaalibwa atya omulundi ogw’okubiri?
1. Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kiba olw’okukkiriza Yesu Kristo yekka. Bwe tusisinkana Enjiri, Omwoyo Omutukuvu atusingisa omusango gw’ekibi kyaffe era n’atulabula ku musango gwa Katonda (Yokaana 16:5--9) Tutuuka okutegeera nti ne bwe tuba nga tuli muntu wa ddiini nga Nekodemo, tugwa wansi mu kitiibwa kya Katonda era twolekedde okufa okutaggwaawo olw’ebibi byaffe. Kyokka Katonda atuwa ekirabo eky’olubeerera okuyita mu mulimu gwa Yesu Kristo ku lwaffe.
2. Omwoyo Omutukuvu akakasa obulamu obupya. Abeefeso 1:13--14.N.b. Omwoyo Omutukuvu takoma ku kutuwa bulamu bupya, naye era “atussaako akabonero” olw’obulamu obwo obupya. Kino kitegeeza nti Omwoyo Omutukuvu akola ng’omusingo nti obulamu buno obupya obutandise olw’okukkiriza olunaku lumu bujja kutuukirizibwa mu ggulu.
3. Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kirabo kya Katonda. Tetusobola kusikira bulamu butaggwaawo okuva mu bazadde baffe ,bonna bantu abazaalibwa n’ekibi Abaruumi 5:12,Amateeka g’eddiini gokka gatuyamba kutegeera butuukirivu bwa Katonda naye tegasobola kutuwonya Abaruumi 3:20. Okubatizibwa kabonero akalaga nti twatukuzibwa okuva mu musango naye amazzi gennyini tegasobola kutufuula balongoofu 1peter 3:21 era okubeera n’obulamu obulungi kibala kya kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri naye tegatufuula balamu. Ekirabo ky’ekisa kya Katonda kyokka kye kituwonya bwe tussa okukkiriza kwaffe mu kufa n’okuzuukira kwa Yesu Abeefeso 2:8--9.
4. Bwe tuzaalibwa omulundi ogw’okubiri ng’obulamu obuggya 2 abakkolinso 5:17. Ekikadde kiweddewo ate ekipya kizze. Omuntu bw’aba mu Kristo, ofuuka omuntu omupya n’obulamu obupya wansi w’Obwakabaka bwa Kristo Yesu.Ofuna obulamu obupya n’Omwoyo omupya, essuubi eppya, endowooza empya n’obwesigwa obupya bwe twazaalibwa. Kino tukiyita endagamuntu yaffe empya mu Kristo. Tufuuka abantu abapya abalina okwagala okweyongera Okumanya Kristo n’okutambulira mu makubo ge.
Okusoomozebwa!!
1. Wazaalibwa omulundi ogwokubiri? Gabana emboozi yo
2. Obulamu bwo ng’ekitonde ekipya bulina kuba bwa njawulo butya ku bulamu bwo obw’edda? Oluyimba 289. Yesu yajja alokole. Mu kisiibo kino webuuze nalokoka oba neebuzaabuza?! Alina omwana Yesu alina obulamu obutagwaawo. Oba okulukoka kati yatula nti NDOKOSE. Beera wa ddembe okukuba ku ssimu 0779305521 oba okugenda ew’omuweereza w’ekkanisa yo. Emikisa gya Katonda gibe ku ggwe.
Rev. Samuel Muwonge.
No comments:
Post a Comment